Omulamuzi wa kkooti enkulu mu kibuga Mbarara, aliko omusajja myaka 23, gwasindise mu kkomera okumala emyaka 13 lwa kusobya ku mwana mulenzi myaka 8.

Mu kkooti ebadde ekubirizibwa omulamuzi Allan Paul Mbabazi,  egamba nti 9, June, 2023, Muhammed Atweta nga mutuuze mu bitundu bye Kajara mu disitulikiti y’e Ntungamo, yasobya ku mulenzi, amangu ddala yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Omulenzi, yali asindikiddwa kukyaba nku, Muhammed gye yamusangiriza.

Wadde yali amusuubiza okumutta, omulenzi yasobola okutegeeza ku nnyina era amangu ddala Poliisi netegezebwako, Muhammed nakwatibwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jacob Nahurira, lugamba nti Muhammed yakkiriza emisango nga y’emu ku nsonga lwaki yasibiddwa ebbanga ettono.

Ku myaka 13, omulamuzi Allan Paul Mbabazi yamusaliddeko ebbanga ly’amazze ku limanda, omwaka gumu n’ennaku 2 nga kati wakumalayo emyaka 11, n’emyezi 11 n’ennaku 28.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=x8cdtMx9dGU