Poliisi y’e Kamuli ekutte taata omuto myaka 28 ku misango gy’okusobya ku mwana we.

Taata Kabanda Abudalah, mutuuze ku kyalo Butangala mu Monisipaali y’e Kamuli.

Kabanda akwatiddwa ku by’okusobya ku mwana ali mu P5 ku Buzibirira primary school mu Monisipaali y’e Kamuli.

Okunoonyereza kulaga nti Kabanda mu 2019 yawasa Nakaga Fatuma myaka 32 kyokka okugenda mu bufumbo, yaggya n’omwana we.

Mu 2020, Kabanda yasendasenda omwana okutandiika okumusobyako olwa nnyina okuba ng’alina emirimu mingi, akeera kuva waka.

Omwana okufuna olubuto, y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okutegeeza ku basomesa kyokka amangu ddala, nnyina yasobola okumutwala mu ddwaaliro ne bagyamu olubuto.

Abakulu ku ssomero, baasobodde okuddukira ku Poliisi y’e Kamuli okutwala omusango, okuzuula ekituufu.

Poliisi yasobodde okuggulawo omusango  52/26/06/2024/CRB 660/2024 ogw’okusobya ku mwana wakati mu kunoonyereza.

ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kamuli, agamba nti omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa era oluvanyuma yatwaliddwa ab’ekitongole ki Uganda women Network e Kamuli okwongera okumwekebejja.

ASP Kasadha agamba nti Kabanda ali ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=o27z2wiyz2s