Kyaddaki ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kifulumizza ebyava mu kubala abantu ebisokeddwako, ebitali bya nkomeredde nga bannayuganda beyongedde.

Ku Serena Horeero mu Kampala, ku mukolo ogwetabiddwako omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni, UBOS eraze nti bannayuganda beyongedde obungi.

Ku byava mu kubala, biraga nti Uganda erina abantu

45,935,046

– Kuliko abakyala 23,439,945 ate abasajja 22, 495, 101

– Ku bukadde 45,935,046, kuliko abagwira abasangiddwa mu Uganda 780,061

– Amaka geyongedde obungi, 10,845,119

– Abakyala bakyali bangi, nga bakola ebitundu 51 ku 100

Mu Uganda

0-17 years – bakola ebitundu 50.5 ku 100

18-30 Years – Bavubuka ebitundu 22.7 ku 100

60 Plus – Abakulu bakola ebitundu 5 ku 100

Ate abantu abalina emirimu

14 – 64 – bakola ebitundu 55.6 ku 100

Okubala abantu, kulaze nti abantu beyongedde obungi mu

Kampala

– Mbarara

– Gulu City

– Masaka

– Hoima

– Lira

– Mbale

– Jinja

Ebisomeddwa, biraga nti

Amaka geyongedde obungi okuva

7.2M mu 2014 okudda ku 10.8M mu 2024

Abantu beyongedde obungi okuva ku

34.6M mu 2014 okudda ku 45.9M mu 2024

Abantu beyongeddeko obukadde 11.3M mu myaka 10 okuva 2014.

Ebifulumiziddwa, kiraga nti bannayuganda, bakulira ku bitundu 2.9 ku 100.

Okubala abantu kwakolebwa okuva nga 10 – 26, May, 2024, kwakoleddwa omulundi ogwe 11 mu Uganda, okuva mu 1911 ate ku mulundi guno, gwe mulundi ogwasoose okweyambisa Tekinologye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NeJSqamxEQE