Kyaddaki Poliisi y’e Kamuli ekutte omulenzi ku misango gy’okutta omuwala omuto.

Akawungeezi k’olunnaku Olwokusatu nga 26, June, 2024, ku ssomero lya Auruku Ominai Primary School, mu ggombolola y’e Ogoma e Kumi, omulenzi Ivan Etiang myaka 13 yasse omuwala Jane Titin myaka 14.

Abaana bonna nga bali mu P5 baafunye okusika omuguwa era amangu ddala Ivan yakubye Titin ekikonde ku bbeere.

Abasomesa bagezaako okuddusa omuwala mu ddwaaliro okufuna obujanjabi, ekyembi omuwala yafa nga bakamutuusa mu ddwaaliro lya Nyero health centre.

Embeera eyo, yavaako famire y’omuwala okulumba famire y’omulenzi ku kyalo Nyero era waliwo obuyumba obumu obwakumwako omuliro, okubba n’okutwala ebisolo omuli embuzzi, endiga n’ente n’ebirala.

Wabula Poliisi egamba nti kati omulenzi Ivan ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okutta mwana munne era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Claire Nabakka, mu Uganda singa omwana yenna aba waggulu w’emyaka 12, kikkirizibwa okutwalibwa mu kkooti okuvunaanibwa.

Nabakka asabye famire y’omuwala eyattiddwa, okwewala okuddamu okutwalira amateeka mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Rfh7uk9hCJk