Poliisi mu Kampala ng’eri wamu n’abakwasa amateeka mu kitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA) bakutte omukozi omusajja Musisi Ronald abadde yeegumbulidde okweyita kyatali.

Musisi abadde yeeyita mukungu mu kitongole ki KCCA, avunaanyizibwa ku by’okuwa abantu olukusa okuzimba mu bitundu bye Kawempe.

Musisi kati mukwate

Okukwatibwa, kidiridde abantu okwemulugunya olwa KCCA, okubategeeza okumenya amayumba gaabwe ate nga balina ebiwandiiko ebiraga nti KCCA yabakkiriza okuzimba.

Musisi mu kutambuza emirimu gye egy’okufere, abadde yeeyita Agaba Albert Villey, kyokka olukwatiddwa, alaze nti mulema, tasobola kutambula bulungi.

Musisi abadde asaba abantu ssente okukola ku nsonga zabwe

Agaba Albert Villey omutuufu, nga yavunaanyizibwa ku by’okuzimba mu KCCA mu bitundu bye Kawempe, agamba nti Musisi abadde afeze abantu ab’enjawulo.

Agamba awanjagidde abantu mu Kampala okweyambisa City Hall mu Kampala ekitebe kya KCCA okunoonya abantu abatuufu okufuna ebiwandiiko by’okuzimba okusinga okusembeza abafere.

Okunoonyereza kulaga nti Musisi akola ne banne okuli Omukozi Hamza Kamugisha n’omulala ategerekeseeko erya Sserwadda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=O1EwQYy0dEc&t=5s