Poliisi y’e Kamuli ekutte omukyala Suzan Namuganza myaka 34 abadde aliira ku nsiko, eyadduka ne Yinki 8 ya bba

Namuganza abadde anoonyezebwa ku misango gy’okwagala okutta bba Moses Kawubanya myaka 45 oluvanyuma lw’okumusalako ebitundu by’ekyama n’okubba ssente za bba.

Kawubanya, Direkita wa Serena Children’s Home mu zzooni y’e Busana, Nabirumba ward mu ggoombolola y’e Nabwigulu mu disitulikiti y’e Kamuli.

Suzan Namuganza akwatiddwa

Mu kunoonyereza, omukyala Namuganza bamukwatidde Buwaga mu ggoombolola y’e Bulange mu disitulikiti y’e Namutumba ng’ali wa muganda we yekwese.

Poliisi egamba nti ku Mmande nga 10, June, 2024, ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, Namuganza yasalako bba ebitundu by’ekyama yinki 8, oluvanyuma yadduka ne ssente ezitamanyiddwa muwendo.

Omusajja wakati mu maziga, yaddukira eri baneyiba era amangu ddala yatwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Kamuli, okufuna obujanjabi.

Suzan Namuganza akuumibwa ku CPS e Kamuli

Waliwo ebigambibwa nti Kawubanya okufuna omukyala omulala, y’emu ku nsonga lwaki omukyala Namuganza yamusalako ebitundu by’ekyama.

Ng’omusajja omulala yenna, Kawubanya ayagala mukyala we asibwe mayisa.

ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga North agamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso era essaawa yonna omukyala bamutwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=O1EwQYy0dEc&t=5s