Omubaka we Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo asobeddwa, olw’okulemwa okuweza emikono egyetaagisa, okuleeta ekiteeso eky’okugyamu bakamiisona Palamenti obwesigwa.

Ssekikubo ne banne, balemeddeko nti bakamiisona okwegabanya ssente 1.7B mu ngeri y’akasiimo, kyali kimenya amateeka okuli

Mathius Mpuuga  – Omubaka Nyendo – Mukungwe – obukadde 500

Solomon Silwany – Omubaka Bukooli Central – obukadde 400

Akampulira Prossy – omubaka omukyala Rubanda – obukadde 400

Asther Afoyochan – Omubaka omukyala Zombo – obukadde 400, mu ngeri emenya amateeka.

Wabula Ssekikubo agamba nti wadde yasobodde okugenda mu konsituwensi ezimu okunoonya emikono, ababaka bekwese nga batya okuteeka emikono ku kiwandiiko kye.

Agamba e Hoima ne Jinja, yalemeddwa okufunayo wadde omukono ogumu ate nga ku Palamenti boogera nnyo ku nsonga y’okulwanyisa enguzi.

Ssekikubo wadde ekyalina essuubi, okuweza emikono 177 egyetaagisa, agamba nti ye ssaawa abalonzi okuyingira mu nsonga eno, okusindikiriza abakulembeze baabwe, okusa emikono ku kiwandiiko kye.

Ku mikono gye yakafuna kuliko Baminisita 2 okuli

Persis Namuganza – Minisita Omubeezi ow’eby’amayumba

Jennifer Namuyangu – Minisita omubeezi mu offiisi ya Ssaabaminisita ow’ensonga za Bunyoro.

Ssekikubo, alemeddeko agamba nti mu kiseera kino akyanoonya emikono egiri 7, okuweza emikono 177 okutwala ekiteeso mu palamenti, Mpuuga ne banne okugibwamu obwesige.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8nmkF9xuh48