‘Ddoozi’ ya Gravity Omutujju etabudde abasawo, olina okubikyusa.
Abasawo abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association (UMA) batabukidde abayimbi, abegumbulidde okuwebuula abasawo nga bayita mu nnyimba zaabwe.
Abasawo bano, bagamba nti bangi ku bayimbi, bafulumya ennyimba nga bayambadde ng’abasawo kyokka enneyisa yaabwe mu vidiyo zaabwe ate esukkiridde okutyoboola abasawo.
Balabudde nti abayimbi engeri gye beyisaamu nga bayambadde ng’abasawo mu vidiyo, kyongedde okutiisa bangi ku basajja, okusindika abakyala balwaliro, nga betaaga obujanjabi, nga balowooza y’engeri abasawo gye beyisaamu.
Nga basinzira wali e Mulago ku Mulago Guest House, banokoddeyo enneyisa y’omuyimbi Gravity omutujju, mu vidiyo y’oluyimba “ddoozi” lw’atadde enkya ya leero.
Abasawo nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Dr Herbert Luswata, balabudde nti singa abayimbi tebakomya kutyoboola kitiibwa kyabwe, boolekedde okuddukira mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya UCC, ennyimba ezimu okuziwera.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5RhF4Np-0yg