Omusuubuzi Abubakar Swalleh myaka 31 aguddwako emisango egy’obutujju era asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.

Asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi Ronald Kayiizi wali ku Buganda Road.

Swalleh abadde yeeyita amannya ag’enjawulo omuli

– Mupeta Isaac

– Dog City

– Fujo Boxer

– Tom Kivuruge.

Aguddwako emisango 3 omuli

– Okuteeka ssente mu butujju

– Okuwagira obutujju

– N’okuba omutujju w’akabinja ka ADF.

Takkiriziddwa kwongera kigambo kyonna kuba ali ku misango gya naggomola.

Avunaanibwa ne Sulaiman Nsubuga myaka 48 kyokka mu kkooti tabaddewo era omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 16, July, 2024, Swalleh ne Nsubuga okuleetebwa mu kkooti.

Okusinzira ku Ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu

– Joan Keko ne Ivan Kyazze,

Nsubuga ali ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango emirala omuli n’okusangibwa n’emmundu era bagenda kumuleeta mu kkooti, bamusomere emisango gye.

Kigambibwa wakati wakati wa 2018 – 2024, Swalleh ne Nsubuga n’abalala abakyaliira ku nsiko, nga basinzira mu Uganda,  Dr. Congo, Tanzania, Zambia ne South Africa benyigira mu kuwagira abatujju ba ADF.

Baali bagula ebintu omuli Amasaawa ga Digita, Power Banks n’ebintu ebirala ne batwala n’abantu okuyingira obutujju.

Nsubuga bamukwatira Busia ate omusuubuzi Swalleh mu ggwanga lya Zambia.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5RhF4Np-0yg