Poliisi ekutte abantu 8 ku misango gy’okutta abaana abato 2 okuli Asiimwe Julius ne Junju Andrew myaka 6 mu disitulikiti y’e Ssembabule.

Omwana eyasooka Asiimwe Julius yawambibwa nga 10, June, 2024 ate Junju Andrew nga 2, July, 2024 era abazadde kwekuddukira ku Poliisi y’e Matete okunoonya abaana baabwe.

Okunoonyereza kulaga nti abaana bawambibwa nga bagenda ku ssomero lya St. Herman Kasana Primary School.

Wadde abaana bazuuliddwa nga bonna kati z’embuyaga ezikunta, Poliisi egamba nti abantu 8, bakwatiddwa ku misango gy’okusaba ssente abazadde nga tebannaba kutta abaana.

Abaana battiddwa ne basuulibwa mu kabuyonjo era Poliisi weyabazuulidde nga batandiise okuvunda.

Abakwate kuliko

1. Mutebi Isaac, myaka 17, nga muyizi ku Kasana Muslim Primary School, Kasana “A”

2. Tumwebaze Elli, myaka 18 nga muyizi mu S3 Matete Comprehensive Secondary School, Kiganda R/D, Matete Town Council

3. Nalukola Hassan (eyakulemberamu okuwamba), myaka 50 nga mutuuze ku Kasana “A”, Matete Town Council

4. Sebunya Muhamed myaka 36, mutuuze ku kyalo Kasana “A”, Matete Town Council

5. Amon Twinomujuni, myaka 47, mutuuze Kasana “C”

6. Muwonge Matayo, myaka 48, mutuuze we Nakatoke, Matete Town Council

7. Musanje Ahamed, myaka 29, mutuuze we Kasana “C”, Matete Town Council

8. Kasaga Peter, myaka 45, mutuuze we Nakatoke, Matete Town Council.

Kasirye Twaha, omwogezi wa Poliisi  e Masaka, agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GIcL9GqRMCE