Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga ng’eyita mu kitongole kya Immigration, ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga kisobeddwa olw’abagwira abeyongedde okusaba Paasipooti nga balina Ndaga Muntu za Uganda omuli bannansi ba Rwanda.

Wadde Bannayuganda bokka bebalina okuba ne Paasipooti za Uganda, nate abagwira abanoonya Paasipoota beyongedde mu ngeri emenya amateeka.

Minisitule eraga nti yakakwata abantu abali 300, ekyongedde okubatiisa, ekiraga nti obufere bweyongedde okuva wansi ku byalo.

Okulabula, kidiridde okukwata Nkubiito Sam, abadde agenze okusaba Paasipooti kyokka okumwekebejja ng’alina Ndaga Muntu 2 omuli Rwanda ne Uganda, ekintu ekimenya amateeka.

Simon Mundeyi, omwogezi wa Minisitule y’ensonga z’omunda agamba nti abantu nga Nkubiito beyongedde obungi n’okusingira ddala bannansi ba Rwanda nga waliwo abalowooza nti bayinza okufuna Paasipooti nga bayita mu kweyambisa obulimba.

Mundeyi alabudde abantu abali mu kuyambako abagwira okufuna ebiwandiiko ebiraga nti bannayuganda nti essaawa yonna nabo bagenda kukwatibwa.

Mu Uganda, abagwira beyongedde obungi n’okusingira ddala mu bitundu bye Makindye mu Kabalagala, Kansanga, Bbunga, Ggaba omuli bannansi ba Eritrea, DR.Congo, Sudan, Somalia, Rwanda n’abalala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=oT6z71PrUjA