Owa ‘tiktok’  Edward Awebwa myaka 24 asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 6 lwa kuvuma Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Mukyala we era Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Kataaha Museveni, n’omutabani era omuddumizi w’amaggye mu ggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba.

Awebwa, mutuuze we Nsanvu Nama mu disitulikiti y’e Mukono era wiiki ewedde ku Lw’okutaano yakkiriza emisango mu maaso g’omulamuzi Stellah Maris Amabilisi, owa kkooti esookerwako Entebbe.

Yasobola okweyambisa  omukutu ogwa ‘Save Media Uganda’ ku Tiktok okuvvoola abakulembeze abo.

Okunoonyereza kulaga nti kino yakikola wakati wa February ne March, 2024, Edward Awebwa yekwata ne kukatambi nga afulumya ebigambo ebikaawu omwali n’okuwemula abantu bano  aba First Family.

Omulamuzi Amabilisi, agambye nti  First Family, erina okuweebwa ekitiibwa era batyo omusibe asindikiddwa Kigo.

Ate Poliisi y’e Kyankwanzi esobodde okwata abantu 5, abagambibwa okwenyigira Ente mu kitundu ekyo.

Mu kikwekweeto, Poliisi esobodde okuzuula emmotoka ekika kya Toyota Prado, egambibwa okweyambisibwa, mu kutambuza ensolo ezibiddwa.

Abakwatiddwa kuliko

1. Kagulire Farouk,

2. Sebungye Ronald

3. Kenge Fred,

4. Oneno Segawa Vincent ne,

5. Kalyango alias younger

Mu sitetimenti ku Poliisi,

Kagulire, abadde yakava mu kkomera, gy’amaze ebbanga lya myaka 3

Kalyango, yagaana okudda mu kkooti e Kiboga, ku misango gy’okubba ente.

Okusinzira ku Racheal Kawala, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala, abakwate basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo, ebigenda okweyambisibwa mu kkooti.

Agamba nti emmotoka, ebadde yakyusibwa, okusobola okutambuza ensolo ezibiddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=O1EwQYy0dEc&t=6s