Akazito keyongedde mu ggwanga erya Kenya, Pulezidenti William Ruto bw’agobye Kabinenti yonna okugyako ebifo 2 byokka okuli

Amyuka omukulembeze w’eggwanga Rigathi Gachagua

Minisitule y’ensonga z’ebweru, Musalia Mudavadi

Mungeri y’emu ne Ssaabawolereza wa Gavumenti naye agobeddwa.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, Ruto agambye nti yasobodde okwebuuza ku bantu ab’enjawulo, kwe kusalawo okusatulula kabinenti.

Pulezidenti William Ruto

Kigambibwa, enkyukakyuka zikoleddwa oluvanyuma lw’akazito okuva mu bavubuka okwekalakaasa kumpi mu ggwanga lyonna omwezi oguwedde.

Okwekalakaasa kwatta bannansi abali mu 39.

Abavubuka balemeddeko bagamba nti Ruto alina n’okukyusa omuwendo gwa Baminisita.

Bagamba alina okukyusa omuwendo gwa Baminisita okuva ku 21 okudda ku 14.

Mungeri y’emu bagamba nti nga bwe yagobye abakozi mu Gavumenti abawezeza emyaka 60, naye alina okulonda Baminisita abali wansi w’emyaka 60.

Ruto agamba nti agenda kulonda Kabinenti egenda okuteeka mu nkola okusaba kwa bannansi mu ggwanga lyonna.

Kinajjukirwa nti n’eyali Pulezidenti wa Kenya ow’okusatu (3) Mwai Kibaki, okuva December 2002April 2013, naye yagobako Kabinenti yonna nga 23 November 2005.

Kibaki yabagoba bwe yali ku TV omulundi Ogwokusatu mu ssaawa 72 zokka.

Bannansi baali balonze nga bawakanya enkyukakyuka mu Sseemateeka waabwe nga baloowoza agenda kuwa Kibaki obuyinza, afuuke Nakyemalira mu nsi yabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=qyXyILzmH30