Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) avuddemu omwasi ku nsonga ya Poliisi okumulemesa okutambuza emirimu gy’ekibiina.


Bobi Wine olunnaku olw’eggulo, yabadde mu disitulikiti y’e Bundibugyo wabula wadde yakkiriziddwa okuggulawo offiisi y’ekibiina okumpi ne offiisi y’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM), ate oluvanyuma yagaaniddwa Poliisi okugenda ku kisaawe kye Booma.


Bobi Wine yabadde ategese okwogerako eri abatuuze b’e Bundibugyo wabula yategeezeddwa Poliisi nti ku kisaawe waliyo emikolo emirala.
N’okutuusa kati, Bobi asobeddwa lwaki Poliisi esukkiridde okumulemesa okutalaaga eggwanga.


Agamba nti akoze buli kimu okutambulira mateeka wabula Poliisi eraga nti okumenya amateeka tekirinaako buzibu.
Olunnaku olwaleero, Bobi Wine yalangiridde nti agenda mu bitundu bye Bushenyi Ishaka era agamba nti bakoze buli kimu okutegeeza ku Poliisi nga tasuubira nti olunnaku olwaleero ate waliwo omusirikale yenna ayinza okumulemesa.

Vidiyo – https://www.youtube.com/watch?v=HpmSMEGZS8I