Abatuuze mu Kibaati, Sankala zooni, e Makindye basobeddwa omuvubuka abadde yakajja mu kitundu okutambuza omulimu gw’okusiika eby’okulya omuli Chapati ne Ssumbusa, bw’asangiddwa enkya ya leero ng’afiiridde mu nnyumba.

Omuvubuka ono, ategerekeseeko erya Patrick Ogwanga, abadde myaka 20 nga yavudde mu bitundu bye Mubende.

Ku mulimu, abadde yakamala wiiki nga zigenda mu 2 era bakomye okumulabako ku ssaawa 6 ez’ekiro bwe yabadde anyuse ku mirimu.

Kigambibwa, okusula mu nnyumba ne sigiri ng’afumba ebijanjalo, ayinza okuba nga yafudde kiziyiro.

Ssekimpi Kasimu, Ssentebe w’ekyalo Ssankala, asigadde akukulumidde Poliisi okutwala essaawa ezigenda mu 5, okukima omulambo ate nga okuva ku Poliisi y’e Kabalagala siwala.

Omulambo gutwaliddwa Poliisi mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa okuzuula ekituufu ekisse Ogwanga.

Ate Poliisi mu Kampala etandise okunoonyereza ku bubbi obukoleddwa ku munnansi wa Buyindi ategerekese nga ye Joshi Keshav nga ono akolera ekitongole ky’ebyobulambuzi ekya Tours and travel company mu Kampala.

Obunyazi buno bubaddewo misana ttuku ku luguudo lwa Jinja Road mu masangaanzira g’ekifo ekyakazibwako erya Eso Corner ku Mmande ku ssaawa nga 6 ez’emisana.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala Patrick Onyango agamba nti mu bibbiddwa ku Keshav mu baddemu

1 – Kompyuta ekika kya laptop ebalirirwamu obukadde Bubiri n’emitwalo abiri

2 – Esssimu

3 – Ssente emitwalo kumi n’etaano (150,000)

Obubbi buno busaasaanidde ku mikutu gya social media oluvannyuma lw’okukwatibwa mu katambi ka kamera enkessei ku luguudo luno.

Onyango agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nti bakwata abantu bonna abali mu katambi mu bubbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xOfDchb0RXY