Eyali omusomesa ku Yunivasite e Kyambogo, Dr. Lawrence Eron aziddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.

Omusomesa Eron, yakwatibwa ku by’okusobya ku mwana myaka 16, aliko obulemu, namusiiga ne siriimu.

Okunoonyereza kulaga nti omwana yamusobyako nga 12, October, 2023 wakati wa Yunivasite e Kyambogo ne ku kyalo Nsawo Namugongo, nga kigambibwa yasobola okweyambisa ebiragalalagala, okuwa omwana, okusobola okumusobyako.

Okunoonyereza kukyagenda mu maaso era Dr Eron aziddwa ku limanda okutuusa nga 31, July, 2024, bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi e Nakawa, Christine Nantege.

Wabula bazadde b’omwana eyasobezebwako ssaako ne mikwano gyabwe abaliko obulemu, balemeddeko okunoonya obwenkanya.

Ate Poliisi mu Kampala ekutte omu ku babbi abaalabikidde mu katambi nga bakuba n’okubba munnansi w’eggwanga lya Buyindi olunaku lwokubiri,  ku Jinja Road mu Kampala.

Mu kunoonyereza n’okweyambisa kkamera enkessi eziri ku nguudo, Poliisi ekutte Alex Nyewombaze.

Mu Katambi, kalaga nti ababbi, baabadde 15 era bali ku Pikipiki 5 ne batwala ebintu eby’enjawulo omuli Laptop, essimu, ssente enkalu emitwalo 15 ssaako n’ ebisumuluzo.

Wabula Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonya abakyasigaddeyo, kukyagenda maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=qX1k6UMO3JM