Gavumenti ya Uganda evuddeyo ku mawulire agatandise okusasaana nti gavumenti y’e Namibia egaanye okwongezaayo visa ya ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri ng’egamba nti balina okuwa ekitiibwa ekyo ekisaliddwawo bakulu bannaabwe.

Tukitegedde nti ssenkulu w’eddwaliro omutanda gy’abadde afunira obujanjjabi Dr. Daleen de Lange nga 9, July, 2024, yawandiikidde ministry y’ensonga z’omunda mu Namibia nga abasaba bakkirize Kabaka agire nga akyasigala mu ggwanga lino, kubanga ennaku 90 ezamuweebwa zigenda kuggwako.

Abakulu e Namibia nga bakulembeddwamu Direkita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Penda Naanda, bagaanye nga basinziira ku tteeka lyabwe eritaganya mugenyi kusukka nnaku 90 mu ggwanga lyabwe.

Wabula Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru Henry Okello Oryemu agamba nti Gavumenti ya Uganda teyinza kweyingiza mu nsonga za Namibia.

Min Henry Okello Oryemu

Agamba nti nga Gavumenti balina okuwa ekitiibwa okusalawo kwa Gavumenti ya Namibia.

Mungeri y’emu agamba nti abantu okugenda mu ggwanga lya Namibia, okubanja Ssaabasajja waabwe n’abantu ba Kabaka okulumba ekitebe kya Namibia mu ggwanga lya Bungereza, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki Namibia yagaanye okwogezaayo Visa ya Kabaka.

Minisita Okello awanjagidde abantu ba Ssaabasajja okuwa Kabaka ekitiibwa, asobole okufuna obujanjabi.

Eddoboozi lya Minisita Okello

Ebirala ebifa mu gwanga – https://www.youtube.com/watch?v=775r6nggoYw