Gav’t ekutudde Bobi Wine omutima, okusaba kwe kugobeddwa

Minisitule y’ebyokwerinda n’ensonga z’Abaazirwanako era nga yevunaanyizibwa ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo mu butongole eyanukudde ekibiina ki National Unity Platform (NUP) ku bbaluwa gyekyawandiika nga basaba olukusa okutegekerawo emikolo gy’okujaguza emyaka 4 kasookedde ekibiina kino kitongozebwa ng’ekibiina ky’ebyobufuzi mu Uganda.

Ekiwandiiko kiraga nti NUP yawandiika ebbaluwa nga 9, July, 2024 nga basaba okweyambisa ekisaawe ku Mmande nga 22, July, 2024.

Abakulu mu bbaluwa eno bategeezezza nti ekibiina ki NUP tekigenda kusobola kukolera mikolo gyako mu kisaawe kino kubanga emirimu gy’okukiddaabiriza gigenda mu maaso nga mu kaseera kano tewakyali mikolo gikkirizibwa kukolebwa mu kifo kino.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=775r6nggoYw