Abaana b’engoma nga bakulembeddwamu Omulangirira Cripin Jjunju Kiweewa, bawanjagidde abantu ba Kabaka  Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II okuwa Ssaabasajja eddembe ly’obuntu, mu kiseera eky’okufuna obujanjabi.

Omulangira Jjunju, avumiridde ne eky’abantu Ssekinoomu, abaludde nga befuula okwagala Kabaka nga bayisaamu ebyabwe omuli n’okusiiga enziro eggwanga lya Namibia, Omutanda gy’abadde amuwuddemu n’okufuna obujanjabi.

Eddoboozi lya Jjunju

Mungeri y’emu asobodde okusiima abasawo ssaako n’abakozi abasobodde okujanjaba Kabaka ng’ali mu ggwanga lya Germany, Switzerland ssaako n’eggwanga lya Namibia.

Jjunju ku lwa famire yonna, asobodde okwetondera Gavumenti ya Namibia ne bannansi bonna olw’abantu bannayuganda n’abamu ku bakulembeze okweyambisa ebigambo n’ebikolwa ebivvoola Gavumenti ya Nambia

Okubyogera, Kabaka abadde yakadda mu nsi ye, okuva e Namibia, okuddamu okulamula obuganda.

Ate Katikkiro wa Buganda Munnamateeka Charles Peter Mayiga, ajjukiza abantu ba Ssaabasajja nti Obulamu kikulu nnyo, era buli ekikolebwa, obulamu bwa Kabaka, balina okubosoosowaza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RGPziC29ZR4