Pulezidenti wa America, Joe Biden asazizzaamu eby’okwesimbawo ku bwa pulezidenti okulondebwa ekisanja eky’okubiri mu kalulu akabindabinda mu November, 2024.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa, Biden talambuludde ensonga zimuviiriddeko kuggya nta mu kalulu kano wabula asuubizza okuzinnyonnyola mu wiiki eno.

Biden alangiridde nti kati amaanyi agenda kugateeka mu kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe obumusuubirwamu nga Pulezidenti wa America mu bbanga lyasigazza mu ntebe.

Mu kiwandiiko, asobodde okwebaza abantu bonna abamubeereddewo mu kalulu katamazeeko naddala omumyuka we Kamara Harris myaka 59.

Kamara Harris

Nga Pulezidenti, Biden asuubiza okuwagira Kamara singa akwasibwa bendera ku bwa Pulezidenti.

Joe Biden myaka 81 abadde Pulezidenti wa America owa 46 era abadde mu buyinza okuva 2021 okuva mu kibiina ki Democratic Party.

Wakati wa 2009 – 2017, yali amyuka Pulezidenti Barack Obama ate okuva wakati wa 1973 – 2009 abadde mukiise mu Senate okuva mu bitundu bye Delaware.

Kigambibwa Biden mulwadde nga y’emu ku nsonga lwaki yasabiddwa bannakibiina ki Democratic Party okuva mu lwokaano lwa Pulezidenti.

Abamu bagamba nti abadde atandiise okufuna ekizibu ky’okwerabira, ekiyinza okumulemesa okutambuza emirimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AJ–4tqU4KA