Poliisi n’amaggye, boongedde okunyweza ebyokwerinda ssaako n’okunoonya abatemu mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso abasse abantu 2 nga bakubiddwa amasasi, mu kiro, ekikeeseza olwaleero.
Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakubiddwa amasasi kuliko omutuuze Nalumansi Evelyne abadde omutuuze ku kyalo Mpangala Cell mu Tawuni Kanso y’e Kyengera ssaako n’omusajja, eyabadde mu kyambalo ky’amaggye.
Ettemu, lyaguddewo ku ssaawa nga 2 ez’ekiro ku nkulungo y’e Buddo e Nakasozi mu Tawuni Kanso y’e Kyengera.
Wabula abatuuze b’omu Kitundu, abaabaddewo ng’ettemu likolebwa, bakyali mu kutya.
Mu kiseera kino, Poliisi eri mu kunoonya abatemu n’okuzuula lwaki ettemu lyakoleddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hXQFdzUIKHM