Ettaka libumbulukuse mu nkuba, 229 bafiiriddewo

Okunoonya emirambo kukyagenda mu maaso mu ggwanga lya Ethiopia.
Enkuba eyafudembye ku Ssande ne Mmande, yavuddeko ettaka okubumbulukuka era kati bangi ku batuuze mu zzooni y’e Gofa bali mu maziga.
Wakati mu kunoonya n’okutaasa abatuuze, bakazuula emirambo 229.
Abakulembeze bagamba nti okunoonya abatuuze kugenda mu maaso era omuwendo gw’abantu abaafudde, gusuubirwa okulinnya.
Mu kiseera kino ebitongole eby’enjawulo omuli Red Cross bakola kyonna ekisoboka okuwa abatuuze obuyambi.
Tulakita ziri mu kuyiikuula ttaka okunoonya emirambo ssaako n’abatuuze okweyambisa enkumbi okunoonya abantu baabwe.
Omu ku bakulembeze mu bitundu bye Goza, Dagmawi Ayele agamba nti abafudde mulimu abaana n’abantu abakulu ate abantu 10 bazuuliddwa nga balamu era bonna baasindikiddwa mu ddwaaliro.
Amayumba mangi gali ku ttaka era kati abatuuze bawanjagidde Gavumenti okubaduukirira.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jo0iXzZZx3A