Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera ekutte omukazi agambibwa okuba nga yasazeeko bba ebitundu bye eby’ekyama ku kyalo Kabaawo.

Omugenzi ye Reagan Karamaji ow’emyaka 37 nga abadde mutuuze wa Kabaawo zone mu Town council ye Mutukula mu district ye Kyotera nga abadde avuga mmotoka ezitambuza eby’amaguzi.

Harriet Ampayire myaka 23 yakwatiddwa.

Okunoonyereza kulaga nti omugenzi Karamaji abadde alina omukazi wabula yagenda mu nsi za Buwalabu okutambuza emirimu.

Karamaji abadde yasalawo okufuna omukyala omulala Ampayire nga bakamala ebbanga lya myezi 7.

Waliwo ebigambibwa nti mukyala w’omugenzi omukulu abadde ali mu ntekateeka okudda era kiteeberezebwa nti Karamaji abadde yagobye Ampayire ng’alina okulinda mukyala mukulu.

Kato Ssenyonga, abadde landiloodi w’omugenzi, agamba nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu kuba Ampayire ne bba Karamaji baludde nga tebalina buzibu bwonna.

Ate David Mujaasi, ssentebe wa Mutukulu Trading Centre agamba nti Poliisi erina okukola ennyo ku nsonga y’ebyokwerinda nga bangi ku bantu abenyigidde mu kuzza emisango, baddukira mu ggwanga lya Tanzania nga bakozesa ppanya.

Ku lwa Poliisi, Twaha Kasirye, omwogezi wa Poliisi e Masaka agamba nti Ampayire aguddwako emisango gy’obutemu era yakwatiddwa bwe yabadde agezaako okuddukira mu ggwanga lya Tanzania.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=hXQFdzUIKHM