Ebitongole byokwerinda mu bitundu bye Kasangati ne Masooli mu disitulikiti y’e Wakiso bikoze ekikwekweeto mwekwatidde abantu 49, abagambibwa nti baludde nga benyigira mu kumenya amateeka n’okusabbalaza abasajja.
Ku bakwate kuliko abakyala 8.
Abatuuze mu kitundu, baludde nga bemulugunya ku
– Bbaala, okubalemesa okwebaka nga bawoganya endoogo
– Okutumbula obuseegu nga bawandiisa abaana abato okuzina ekimansulo
– Ebbaala okusembeza abazzi b’emisango okuwumulirayo
Ekikwekweeto kyakoleddwa ku
– Kasambya Chapa – Kasubi
– Mu Katawuni e Kiwenda
– Busukuma n’ebitundu ebirala.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti abakwate baguddwako emisango 2 omuli
– Okweyisa ng’ekitagasa
– Okwenyigira mu kumenya amateeka
Mungeri y’emu Poliisi ewanjagidde abatuuze abalina amawulire agayinza okubayamba okukwata abantu bonna abaludde nga benyigira mu kuzza emisango, okulaba nga bakwatibwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=qfz7EhDrRUc&t=1s