Abamu ku basawo abalinze ogezesebwa (Intern Doctors), abagamba nti bayizi okuva ku Yunivasite e Makerere, batabukidde Minisitule y’ebyobulamu, nti mujjudde abakulembeze abasukkiridde okulya enguzi.
Abayizi, bagamba nti olunnaku olwaleero, bategeezeddwa nti Minisitule yawadde abayizi abali mu 2,500, ogezesebwa okuva ku Lwokuna nga 5, August, 2024, okumala ebbanga lyamwaka gumu.
Buli muyizi, agenda kuweebwa ssente akakadde kamu (1,000,000) newankubadde omukulembeze w’eggwanga mu 2021, yalagira abayizi baweebwe 2.5M.
Wabula abasawo bano, abalinze okutendekebwa, mu kiwandiiko kyabwe kye bawandikidde Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, bagambye nti
– Omuwendo gw’abaana abaweebwa ‘Intern ship’ gweyongedde okwesala okuva ku 1926 mu 2023 – 2024 okudda ku 1263 mu 2024 – 2025.
Mungeri y’emu bagambye nti, okwekeneenya “List’ eyafulumiziddwa, tekuli muyizi yenna okuva ku Yunivasite e Makerere.
Nga bakulembeddwamu Dr. Joseph Odong – Omusawo agenda okugezesebwa, bagamba nti bakooye ejjoogo, betaaga okuzuula lwaki basuuliddwa ebbali.
Omu ku bayizi akwatiddwa okuva e Mulago webasinsidde era atwaliddwa ku Poliisi y’e Wandegeya.
Ate Polof Annet Nakimuli, akulira eby’okusomesa obusawo ku Yunivasite e Makerere, agamba nti nabo, bakyalinze okudibwamu lwaki abayizi baabwe bagiddwako ku mulundi guno.
Polof Nakimuli agamba nti abaana okusoma ne balwawo okukola ‘Intern Ship’, ebintu bayinza okubyerabira, ekintu eky’obulabe.
Wabula omwogezi wa Minisitule y’ebyobulamu Emma Ainebyoona agamba nti tewali ssente kutwala bayizi bonna mu ‘Intern Ship’.
Agamba nti nga Minisitule bakaanyiza okusooka okutwala abaana abaludde nga bali waka okuva 2020, kwe kusaba abayizi abali mu kwekalakaasa okulinda ekiseera kyabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DFPnS5GYRQY