Omu ku babbi, eyali ku Pikipiki mu kubba omuyindi ku Jinja Road mu Kampala, mu July, 2024, abotodde ekyama ebyaliwo ku Poliisi.

Mubrack Swaibu, agamba nti ku lunnaku olwo, waliwo mukwano gwe ayitibwa Diani, eyamusanga Karerwe wakolere, ng’eleese ddiiru mbu yaliko ssente

Agamba yali Karerwe nga yetaaga ssente kuba mukyala we yali yakazaala.

Agamba nti ye mubbi w’amassimu Karerwe, Gayaza Road ne Bwaise ng’alina omugagga agula amassimu bamuyita ‘Father’ ng’akolera mu Kampala.

Ng’asinzira ku Poliisi ku CPS mu Kampala, Swaibu agamba nti yakkiriza ddiiru era okuva Karerwe, mukwano gwe yamutwala mu Lusanja ku luguudo lwe Kiteezi era gye yasaanga abantu abalala nga bali ku Pikipiki.

Okuva mu Lusanja ng’ali ne banne, kwe kulumba ku Jinja Road era amangu ddala munaabwe Ibra yava ku Pikipiki, kwe kulumba Omuyindi namukuba ekitonde munne natwala ensawo.

Okuva ku Jinja Road, bayita ku nguudo ez’enjawulo omuli

Okudda ku Palamenti

Bombo Road

Ewa Kisekka

Sir Apollo Kagwa

Nga batuuse ku Sir Apollo Kagwa nga webali mu kukola oluguudo, Ibra yaddamu okubuuka ku Pikipiki era waliwo omukyala gwe yabako akasawo.

Wabula wakati mu kudduka, batandiika okubagoba era badduka okutuuka e Kazo.

Okutuuka e Kazo ng’embeera mbi, Pikipiki zibagoba nnyo era Pikipiki ya Ibra yabakuba ekigwo bbo ne badduka.

Ibra yasobola okudduka wabula yagenda okuddamu kuba ku ssimu ya mukwano gwe eyali ku Pikipiki, omuntu eyakwata essimu, kwe kumutegeeza nti attiddwa, buli omu kwe kudduka.

Swaibu agamba nti yakwatibwa enkere, bwe yaddayo Karerwe, okuddamu okutambuza emirimu gye.

Wabula webatuuse mu kkooti wali ku Buganda Road, mu maaso g’omulamuzi Jalia Basajjabalaba kitegerekese nti amannya ge amatuufu ye Mubaraka Sharayimu amanyikiddwa nga Musiramu Mundari myaka 24 nga mutuuze we Karerwe, mu Nsoba Zone, Kawempe.

Aguddwako emisango gy’okubbisa eryanyi ye ne banne abakyalira ku nsiko nga 15, July, 2024 ku Eso Corner wali ku Jinja Road.

Asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 21, August, 2024.

Omubbi ayogedde – https://www.youtube.com/watch?v=FhFGtEYdXi8