Alipoota ya Poliisi e Lusanja- Kiteezi eyongedde okutiisa abatuuze n’abakulu mu Gavumenti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Alipoota eraze nti

Abantu abali mu ttenti ku Kiteezi Primary School – 120

Bakyanoonya abantu – 39 nga 35 batuuze b’oku Kyalo, 4 bakawenja

Bakizudde nti wansi wa Kasasiro amayumba agabikiddwa – 33 ( nga gayinza okulinya oba okukka wansi)

Bakutteyo abantu 5 lwa kwefuula kye batali era kati bali ku Poliisi y’e Kiteezi. Basaangiddwa mu ttenti nga bagamba nti nabo batuuze b’omu Lusanja, kyokka nga balimba.

Olunnaku olwaleero ku Lwokusatu, Poliisi yazuddeyo emirambo 6, kati bakazuula emirambo 30 okuva ku Lwomukaaga.

Okuyikuula ettaka kuddamu enkya ku Lwokuna

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirrirwano, agamba nti ebyokwerinda byongedde okunywezebwa, okutangira omuntu yenna ayinza okwenyigira mu kukola effujjo.

Olunnaku olw’eggulo, abazuuliddwa kuliko

1. Hairati Natumanya myaka 20

2. Lwere Ronald

3. Owori Moses myaka 3

4. Okello Richard myaka 31

5. Alowo Jane myaka 33

6. Achengi Jane myaka 6

Ebirala ebifa e Kiteezi – https://www.youtube.com/watch?v=JF4KQxU_ChM