Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi ategeezezza nti gavumenti eyongeddeyo omwaka enteekateeka y’okuzza obuggya endagamuntu eziri mu kuggwaako.

Minisita Muhoozi agamba nti bakyetaagayo omwaka omulala mulamba okuzizza obuggya nga y’emu ku nsonga lwaki bayongezaayo okutuusa omwaka 2025.

Okwogera bino, minisita Muhoozi abadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensonga zomunda mu ggwanga ng’annyonyola wa webatuuse mu kuwandiisa abantu abaagala endagamuntu, okuzza obuggya eziweddeko n’okugaba ezaafuluma edda.

Minisita Muhoozi mu kakiiko

Mu kakiiko, yabadde ne Direkita wa National Identificatrion Registration Authority – NIRA, Rosemary Kisembo ssaako n’abakungu abalala.

Bagamba nti ebyuma ebigenda okweyambisa mu kuwandiisa abantu, tebinatuuka.

Kisembo agamba nti singa bituuka, betaaga obudde okusomesa abantu abagenda okubyeyambisa okuwandiisa abantu, oluvanyuma balina okutegeeza eggwanga, ennaku z’okuwandiisa mu ggwanga lyonna.

Okuwandiisa, kwali kulina okutandiika mu June, 2024 wabula bazze bayongezaayo nga kivudde ku nsonga ya ssente.

Bagamba nti wadde waliwo endagamuntu ezigenda okugwako, Gavumenti eyongezaayo omwaka omulala mulamba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=0MKS3FeJchw