Eyali Ssabawolereza wa Gavumenti Prof Kiddu Makubuya afudde enkya ya leero, Omutonzi amuyise.

Makubuya afiiridde ku myaka 75.

Makubuya, yali Ssabawolereza wa Gavumenti wakati wa 2005 – 2011.

Omugenzi, yaliko omubaka wa Palamenti e Katikamu South mu disitulikiti y’e Luweero.

Yazaalibwa nga 30, July, 1949.

Ku Yunivasite e Makerere, yafuna ‘First Class’ diguli mu mateeka mu 1974.

Mungeri y’emu yafuna Mansita mu mateeka mu 1976 ebweru w’eggwanga.

Bwe yadda mu Uganda, yafuna Dipuloma mu mateeka ku Law Development Center (LDC) wakati wa 1981 – 1982.

Oluvanyuma, yagenda mu kkooti enkulu nga munnamateeka mu 1985.

Yakola mu offiisi ez’enjawulo omuli n’okusomesa ku Yunivasite e Makerere okutuusa mu 1982.

Omugenzi yali memba wa Uganda Constitutional Commission abaakola omulimu omunene, okukola sseemateeka wa Uganda mu 1995.

Mu 1996, yasalawo okwesimbawo ng’omubaka wa Palamenti e Katikamu South.

Ng’omubaka wa Palamenti, yalondebwa nga Minisita omubeezi owa Luweero Triangle mu offiisi ya Pulezidenti.

Mu 1998, offiisi ye nga Minisita omubeezi owa Luweero Triangle yatwalibwa wansi mu offiisi ya ssaabaminisita.

Mu mwaka gwe gumu, 1998, yalondebwa nga Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga okutuusa nga 5, April, 1999.

Oluvanyuma yalondebwa nga Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Minisita w’ensonga z’amateeka, Ssaabawolereza wa Gavumenti okuva mu January 14, 2005 okutuusa May, 27, 2011.

Yagibwa mu Kabinenti mu February, 16, 2012 ku bigambibwa nti yali yeenyigidde mu kubulankanya ensimbi z’eggwanga.

Eyali Musajja wa Pulezidenti Museveni Omutonzi amuyise.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jcZUGurXev0