Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga mu Gavumenti eyekisikirize Betty Nambooze Bakireke agamba nti bakooye ejjoogo, Minisita w’abaana n’abavubuka Balaam Barugahara alina okwetonda.

Minisita Nambooze agamba nti oluvanyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulonda Balaam ku bwa Minisita nga  21 March 2024, ebigambo bingi byayogerwa.

Betty Nambooze Bakireke

Agamba nti yasuubiza okuyingira mu nsonga okuteesa ne Pulezidenti Museveni, okulaba nga basonyiwa abavubuka bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abali makkomera.

Abamu ku bavubuka abali makkomera, bakwatibwa mu 2019, abalala mu biseera bya Kampeyini za 2021 ate waliwo abakwatibwa amangu ddala nga twakava mu kulonda.

Minisita yasuubiza okuyingira mu nsonga ezo, abavubuka abo okuyimbulwa, baddeyo batambuze emirimu gyabwe.

Wabula Nambooze era omubaka wa Monisipaali y’e Mukono agamba nti Balaam asukkiridde okulimba Palamenti ku nsonga z’abasibe kyokka tewali kikolebwa.

Nambooze agamba nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo ku nsonga z’abavubuka abali makkomera nga kiswaza okwetegekera okulonda kwa 2026 nga banaabwe bali makkomera.

Asuubiza okuleeta ekiteeso ekigoba Minisita Balaam olw’okulimba abakulembeze mu Palamenti n’okwogera ebigambo ebiswaza abakulembeze mu ggwanga lino.

Agamba nti kikyamu Balaam okugamba nti Pulezidenti Museveni agenda kweyimirira abasibe, ekiraga nti alina okuddayo, okutendekebwa ku nsonga z’obukulembeze.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Ho_zOUURx24&t=2s