Omuyimbi Edirisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo, yegasse ku bantu abasukka mu 160, abawabuzi b’omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.

Eddy Kenzo, alondeddwa okuwabula Pulezidenti Museveni ku biyiiye omuli eby’okuyimba, katemba, okuwandiika ebitabo, okuba ebifaananyi, okuzannya firimu, n’ebirala.

Oluvanyuma lw’okulonda, kabiite we era Minisita omubeezi ku by’obugagga eby’omu ttaka Phiona Nyamutoro, asobodde okweyambisa omukutu ogwa X, okuyozayoza musajja we n’okusiima omukulembeze w’eggwanga lino okwesiga Eddy Kenzo.

Ezimu ku nsonga Kenzo ezimulinze mwe muli okutegeeza omukulembeze w’eggwanga, ebisomooza bannabitone n’okutema empenda ku ngeri y’okubirwanyisa.

Min Nyamutoro, Pulezidenti Museveni ne Eddy Kenzo

Kinajjukirwa nti, Pulezidenti Museveni yalonda Bucha Man, ng’omuwabuzi ku nsonga z’omu Ghetto

Catherine Kusasira, omuwabuzi ku nsonga z’omu Kampala.

Mu September, 2023, omubaka wa Monisipaali y’e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda yategeeza nti buli mwezi, Kusasira ne Bucha Man baali bafuna omusaala gwa bukadde bwa ssente 2.3.

Tekimanyiddwa ssente meka, Pulezidenti Museveni zalina okuwa Kenzo buli mwezi.

Mu kiseera kino, Kenzo akola nga Pulezidenti w’ekibiina ekigata abayimbi mu Uganda ekya Uganda National Musicians Federation.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4w3FmtkXIDQ