Abantu 10 bafiiridde mu kabenje ku kyalo Kaihura ku luguudo lwe Fort portal ku ssaawa nga 4, nga busasaana enkya ya leero.

Akabenje, kabaddemu emmotoka 2 omuli

– Bbaasi ya Kkampuni ya Pokopoko namba UBE 807T

– Takisi ekika kya Hiance namba UBR 812 G

Okunoonyereza kulaga nti ddereeva wa Takisi, avugira ku luguudo lwe Mbarara – Ntungamo – Kabale wabula yabadde afunye akalimu, okutwala abagenda okuziika, okuva e Ntungamo nga bagenda Kyenjojo.

Kigambibwa, ddereeva wa Takisi yalabiddwako emisana ng’avuga Takisi olunnaku lwonna olw’eggulo ate ekiro, yavuze okutwala abagenda okuziika ku luguudo lwa tamanyi nga yenna mukoowu.

Okunoonyereza, kulaga nti yabadde asumagira era yavudde mu layini ye, kwe kuyingirira bbaasi, ne betomera bwenyi ku bwenyi.

Abantu 10 bonna abaafudde, babadde mu Takisi okuli ddereeva era emirambo, kwekusindikibwa mu ddwaaliro ekkulu e Kyenjojo okwekebejjebwa. Wabula Kananura Micheal, omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uyxvUp4KcWk