Bannakibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) Katonga, bawandikidde akakiiko k’ebyokulonda, ne bawaayo erinnya epya, lyebandyagadde okutuuma ekibiina kyabwe.

Mu biwandiiko bawaddeyo erinnya lya People’s Front for Freedom.

Bano, bagamba nti, bagenda kutambula eggwanga lyonna, okutegeeza bannakibiina ekibiina kyabwe, ebikwata ku kibiina ekipya.

Aba People’s Front for Freedom (PFF), bagamba nti Langi zaabwe, kuliko Enjeru ne Bbulu nga n’akabonero, basuubira okweyambisa essimu

Ingrid Turinawe Munnakibiina nga yegatiddwako Ronald Samuel Wanda, bagamba nti kati balinze akakiiko k’ebyokulonda okwanukula ku nsonga yaabwe, oluvanyuma balina okutambula eggwanga lyonna, okumanyisa bannakibiina, ebikwata ku kibiina kyabwe.

Julius Mucunguzi, omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda agamba nti kati omulimu gwabwe, kwekeneenya biwandiiko ebireeteddwa, okuzuula oba ddala kigwanidde okusaawo ekibiina ekipya.

Okugenda mu kakiiko k’ebyokulonda n’ekibiina ekipya, kabonero akalaga nti omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Dr Kizza Besigye n’abalala, balemeddeko okuva mu FDC Najjanankumbi.

Bano, bagamba nti abakulembeze b’ekibiina kyabwe, bali wamu ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era alina ssente zeyabawa n’ekigendererwa, eky’okutabula ekibiina kyabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=v6lQFryNoTE&t=6s