Poliisi y’e Kisoro esobodde okutegeeza eggwanga, ebikwata ku bantu abaafiiridde mu kabenje ku luguudo lwe Kisoro- Kabale mu ggoombolola y’e Kanaba.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, abagenzi kuliko

– Katembo Kisinziro, omutuuze ku kyalo Butembo mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo (DRC).

– Masika Tseda Wivine myaka 31, omutuuze we Goma mu ggwanga DRC.

Maate agamba nti abantu abali mu ddwaaliro e Kisoro ne Mutolere nga bali mu mbeera mbi kuliko

– Kahindo Esperance Kirumbiri myaka 36, mutuuze we Butembo, DRC

– Kahambo Kimwana Imerida myaka 17, mutuuze we Goma, DRC

– Baluku Rusasa Felix, myaka 3, mutabani w’omugenzi Masika

– Kambale Rusasa Wilfred myaka 2, mutabani w’omugenzi Masika ne

– Muhindo Kigoma Ibrahim myaka 87, mutuuze we Beni, DRC.

Mu kiseera kino ddereeva aliira ku nsiko era Poliisi ekyanoonya ebimukwatako.

Akabenje kabaddemu emmotoka namba CGO 9777AB/07, Toyota Noah.

Emmotoka yabadde eva Butembo mu DRC, nga mulimu abantu 7, nga bagenda Goma.

Akabenje, kabaddewo ku Lwokubiri ekiro ku ssaawa 2:30 ku kyalo Kagano mu ggoombolola y’e Kanaba e Kisoro era abaafiiridde bonna bannansi ba Congo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UarjRT2o2D8