Abawala 3 abalumbye Palamenti nga tebali mu ngoye mu ngeri y’okwekalakaasa basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa omusango gw’okweyisa ekitagasa mu lujjudde ne basindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira .

Abawala bano kuliko Praise Aloikin, Norah Kobusingye ne Kemitoma Kyenzibo, nga basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Ronald Kayizzi owa kkooti ku Buganda Road.

Okutwalibwa mu kkooti ya Buganda Road kivudde ku baserikale okubakwata nga beyambudde engoye, ababiri okuli Aloyikini ne Kobusingye ne basigala mu buwale bwabwe obwomunda ate Kemitooma nasigala mu mpale empanvu ne batambula  nga bakutte ebipande byabwe ssaako n’okwesiiga langi z’eggwanga omuli Black, Red ne Yellow.

Abawala nga bali mu kkooti

Poliisi yasobodde okubakwata ne batwalibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ku CPS ne baweebwa engoye oluvanyuma ne batwalibwa mu kkooti ya Bugand Road.

Mu kkooti, begaanye omusango wabula omuwala Aloikini agamba nti omwezi oguwedde ogwa August, 2024, yaliko mu kkooti y’emu era ku misango gy’okulwanyisa enguzi n’okusaba sipiika wa Palamenti Anita Among okulekulira.

Omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze agamba nti okunoonyereza kuwedde, kwe kusaba omulamuzi olunnaku, omusango okutandiika okuwulirwa wabula munnamateeka w’abasibe Paul Wasswa, yasabye kkooti ekkirize abantu be, okweyimirirwa wabula kati bali Luzira ku limanda.

Mu Uganda, okuva mu mwezi gwa July, 2024, abavubuka bazze bekalakaasa nga basaba sipiika Among okulekulira kuba y’omu kwabo, abagambibwa nti baludde nga benyigira mu kulya enguzi.

Vidiyo – https://www.youtube.com/watch?v=Sl47oizBjcY