Munnayuganda omuddusi Rebecca Cheptegei ali mu mbeera sinungi mu ddwaaliro lya Moi Teaching and Referral Hospital mu ggwanga erya Kenya.

Kigambibwa yafunye obutakaanya ne muganzi we Dickson Ndiema era kigambibwa muganzi we, yamuyiiridde amafuta ga petulooli, namukumako omuliro.

Kigambibwa, omulenzi yalumbye Omuddusi Rebecca Cheptegei mu maka gy’abadde asula mu bitundu bye Kinyoro, mu ssaza lye Trans Nzoia.

Okusinzira ku Madam Rose Chebet, omu ku bakulembeze mu kitundu ekyo, embeera eno, yabaddewo ku Ssande ku ssaawa nga 8 ez’emisana.

Kigambibwa omusajja yatuuse nayigira mu nnyumba mu kaseera nga, Rebecca Cheptegei yabadde ali ku kkanisa n’abaana.

Nga bakomyewo awaka, Dickson yasobodde okuyiira Rebecca amafuta olw’obutakaanya obuludde wakati waabwe.

Wabula bwe yabadde akoleeza ekibiriiti, n’omusajja omuliro gwamukutte era mu kiseera kino bombi bali mu ddwaaliro embeera mbi.

Abatuuze basobodde okwanguwa okuzikiza omuliro era amangu ddala Rebecca Cheptegei ne bba, nebamutwala mu ddwaaliro okufuna obujanjabi.

Mu kwekebejja ennyumba, Poliisi yasobodde okuzuula akadomola k’amafuta aka kyenvu, essimu nga bulaaka, ensawo n’ebintu ebirala.

Poliisi yayingidde dda mu nsonga ezo, okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Omwezi oguwedde Ogwomunaana, Rebecca Cheptegei yabadde mu ggwanga erya France mu kibuga Paris mu mpaka za Olmpics ne banne okuli Stella Chesang ne Mercyline Chelangat era yamalidde mu kifo kya 48 mu misinde gy’okwetoloola.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6GF9HwGX0zM