Munnamateeka Kiboome Noah asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira.
Kiboome myaka 35 nga mutuuze mu zzooni y’e Sonde mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono, aguddwako emisango egy’enjawulo.
Kigambibwa Kiboone aludde ng’afuna ssente mu lukujjukujju , ekintu ekimenya amateeka.

Kiboome Noah ng’ali kabangali ya Poliisi


Okunoonyereza kulaga nti Kiboome ssaako ne banne abakyaliira ku nsiko nga 21, Desemba, 2023, mu zzooni y’e Bukoto mu Kampala, bakozesa olukujjukujju ne baggya ssente 21,500 eza ddoola (ssente 75, 250,000) ku Mawanda Twaha nga yali asuubizza okumuguza emmotoka.
Ate nga 13, Janwali, 2024, yafuna ddoola 15,000 (ssente 52,500,000) okuva eri Nyanzi Abdalalah Lwanyaga mu zzooni y’e Bukoto era naye yali amusuubiza okumuguza emmotoka.
Kigambibwa emmotoka zaali zigenda kuva mu ggwanga lya South Africa.
Bw’asimbiddwa mu kkooti, Kiboome awatali kwewozaako, aguddwako emisango gy’okufuna ssente mu lukujjukujju.

VIDIYO!