Abasuubuzi ba Kampala City Traders Association (KACITA) nga bali w’amu ne Ambasadda wa Namibia mu Uganda, Godfrey Kirumira baduukiridde abatuuze b’omu Lusanja – Kiteezi n’ebintu eby’enjawulo.
Wali ku Kiteezi Primary School awali enkambi, baduukiridde abantu n’ebintu eby’enjawulo omuli Sooda, obuwunga, suukaali, ssabuuni, ensawo z’abaana abasoma, n’ebintu ebirala.
Omugagga Kirumira, asobodde okuwa abaana 10 basale okusoma, n’okutandiika ttamu egenda okutandiika ey’okusatu..
Ate abasuubuzi ba KACITA nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Thadius Nagenda, bawadde abaana bona abaakosebwa mu Kiteezi, basale z’okusoma mu masomero ag’enjawulo.
Bano, bagamba nti bagenda kusunsula abaana bokka abali mu ttenti olw’embeera oluvanyuma olwa Kasasiro okubumbulukuka wabula ssi baana b’omu kitundu g’abazadde balemereddwa okufuna School Fees.
Issa Ssekito, omwogezi wa KACITA agamba nti abasuubuzi b’omu Kampala bavuddeyo, okuddamu okuwa abaana essuubi.
Kasasiro yabuutikira abatuuze b’omu Lusanja – Kiteezi nga 10, August, 2024 era Poliisi n’abatuuze, bakazuula emirambo 35.
Okunoonya emirambo gy’abantu abalala kugenda mu maaso nga kigambibwa abasukka 28 bakyanoonyezebwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=knONqIUYrkM