Poliisi esabye bannayuganda okulinda okutuusa nga bafundikidde okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekyalumizza, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Olunnaku olw’eggulo, Kyagulanyi bwe yabadde ava okukyalira munnamateeka we George Musisi ku kyalo Bulindo mu Monisipaali y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso, bwe yabadde adda awaka, wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Poliisi ne bannakibiina ki NUP.

Bobi Wine ng’ali mu ddwaaliro

Poliisi, egamba nti Kyagulanyi ne banne, baabadde benyigidde mu kutambula mu ngeri emenya amateeka, ekyavuddeko okweyambisa ku lyanyi okubagumbulula wabula bannakibiina, bagamba nti Poliisi ate esukkiridde okutambuza obulimba, tewali mbeera yabaddewo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agamba nti wadde bannayuganda balina obutambi n’okusalira Poliisi emisango, Poliisi erina okunoonyereza okuzuula ekituufu, tetambulira ku mboozi za malwa.

Kituuma Rusoke

Agamba nti wadde Kyagulanyi yalumiziddwa, balina okunoonyereza

– Bwe liba lyabadde essasi, lyavudde mu mmundu kika ki?

– Bwe kiba kaabadde kakebe ka ttiiyaggasi, kakebi ki?

– Ate kiba bwe kiba nga kintu kirala, balina okutegeera kintu ki?

Mungeri y’emu agamba nti embeera eyabaddewo wadde Kyagulanyi yekka yayogerwako

– N’abasirikale baabwe 3, bakoseddwa nga bakubiddwa ssaako n’emmotoka 2 zakubiddwa.

Poliisi era egamba nti bannabyabufuzi okugyemera amateeka ga Poliisi y’emu ku nsonga lwaki embeera esajjuka.

Ebirala ku Bobi Wine – https://www.youtube.com/watch?v=knONqIUYrkM