Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Kibuye mu Kampala, omuvubuka ategerekeseko erya Kude ali myaka 25,bw’atemyeko omuwala omutwe, nagusuula wali.
Omuwala atemeddwako omutwe, ategeerekeseeko lya Rukundo Sharon myaka 19 ng’abadde akolera mu kawooteeri akayitibwa Aunt Joan Restaurant and Take Away era attiddwa bw’abadde ava okunoonya bakasitoma abayinza okulya emmere.
Bano kigambibwa nti baali bafumbo nga balina n’omwana omu kyokka kigambibwa nti baludde nga balina obutakaanya.
Kigambibwa nti Sharon yabadde anobye ng’azze mu Kampala okunoonya ssente.
Omukyala bamutidde mu Juuko zzooni ate omusajja bamutidde mu ttaawo zzooni.
Oluvanyuma lw’omusajja okutta omukyala, abatuuze basobodde okuzingiza omusajja era akubiddwa okutuusa lwe yafudde.
Poliisi okuva e Kibuye etuuse era emirambo gyonna gitwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Mu kiseera kino abatuuze basabye Poliisi okunoonyereza ennyo okuzuula ekituufu ekyavuddeko embeera yonna.
Mungeri y’emu bawanjagidde abantu abali mu laavu, okweyambisa abakulembeze mu bitundu byabwe singa bafuna obuzibu bwonna, obuyinza okuvaako omu okutta munne.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8hlC2b4etZI