Omuyimbi Shakira Shakiraa agudde mu bintu, omusajja bw’amuwadde ekirabo ky’emmotoka.
Shakira Shakiraa y’omu ku bayimbi abakyala kati abaliko, abasobodde okulaga nti ddala balina talenti.
Bwe yabadde ajjaguza amazaalibwa ge, omusajja yasobodde okusindika kapyata y’emmotoka ekika kya Mercedes-Benz Blue Tec.


Ng’omukyala omulala yenna, Shakira ayongedde okulaga nti omukyala yenna alina okuweebwa era ayongedde okulaga ebirungi by’enkudi.
Shakira ali mu myaka 30 kyokka wadde yafunye emmotoka okuva eri omusajja, n’okutuusa kati, omusajja omutuufu tamanyiddwa.
Alina ennyimba ez’enjawulo omuli Am in Love, Kokonyo, Nkwagala, Otute Kiwedde, Lunnaku lwange, Locomoti n’endala.

Vidiyo – https://www.youtube.com/watch?v=OBXVbeCCaKI