Omuyimbi Pius Mayanja amanyikiddwa nga Pallaso, naye avuddeyo era agamba nti betaaga obwenkanya.
Nga 2, August, 2024, Weasel yali alina Konsati ‘Memories of Goodlyfe ku Africana mu Kampala.
Kigambibwa, oluvanyuma lwa Konsati, omutegesi Nobert Twizire amanyikiddwa nga Nobat Events, yalemwa okuwa Weasel wadde 100, agamba nti Konsati yamusala.
Oluvanyuma lwa Konsati, waliwo okwesika amataayi, ekyavaako Weasel okukuba Nobat Events ekikonde ku mutwe mu bitundu bye Makindye.
Wabula mu kiseera nga Weasel alemeddeko okubanja ssente, ne Pallaso naye avuddeyo okuyingira mu lutalo lw’okubanja.
Pallaso agamba nti omuntu yenna singa akola omulimu gwonna, alina okusasulwa.
Agamba nti Nobat Events alina okusasula Weasel kuba naye alina abaana betaaga amata, ssente okudda ku ssomero naye ng’omuntu okutambuza obulamu.
Pallaso agamba nti Nobat Events, alina okusasula Weasel kuba yakola bwe yavaayo okuyimba.

Ebigambo bya Pallaso – https://www.youtube.com/watch?v=9oedP2TsHbQ