Banna Forum for Democratic Change (FDC)  ekiwayi kye Katonga bawadde akakiiko k’ebyokulonda nsalessale wa wiiki emu yokka nga kakkiriza okuwandiisa ekibiina kyabwe ki People’s Front for Freedom (PFF).

Akola nga Pulezidenti w’ekiwayi kino omuloodi wa Kampala, Ssalongo Erias Lukwago agamba ssemateeka abawa eddembe okuwandiisa ekibiina kyabwe nga wabula akakiiko kandiba n’ebigenderwa byako ebikusike ku nsonga eno.

Kinajjukirwa nti wiiki ewedde akakiiko kagaana okuwandiisa ekibiina ki PFF nga kagamba nti baakozesa amanya ne langi ebifaanana eby’ekibiina ekimu wano mu ggwanga omuli FDC Najjanankumbi.

Lukwago, agamba nti ekibiina ki People’s Front for Freedom (PFF) kyagala kweyambisa Loyal Blue ate bbo aba FDC e Najjanankumbi, bakozesa sky Blue.

Agamba nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Mugenyi Byabakama bw’aba alina obuzibu ku maaso, asobola okwebuuza ku bantu abalala okusinga okumenya amateeka.

Agamba singa bagaana okubawa empapula kwebagenda okuwandiisiza ekibiina kyabwe ekipya ssaako n’okubakakasa ku ky’erinnya lye baagala okukiwa erya  people’s front for freedom oba PFF, wiiki ejja ku Mmande, bayinza okwekalakaasa oba okugenda mu kkooti, okweyambisa ensonga z’amateeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FvlgKQwjwug