Ebyama byongedde okuvaayo, oluvanyuma lw’akatambi ka Gloria Buggie okufuluma ng’ali bukunya.
Wadde mu katambi Gloria Buggie yalimu yekka, waliwo ebigambibwa nti yali akasindikira musajja.
Wiiki eno, omutegesi w’ebivvulu Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abtex yaddukidde ku Poliisi ng’asaba Poliisi okukwata Buggie olw’okwenyigira mu kutambuza obuseegu.
Ku Lwokusatu, Abtex era yaddukidde mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mikutu gy’ebyempuliziganya mu ggwanga ki Uganda Communications Commission (UCC) okuvaayo ku nsonga za Buggie kuba balina okutangira abawala abato, abali mu kisaawe ky’okuyimba, ate okwenyigira mukutambuza obuseegu.
Wabula ate waliwo mesegi eziri mu kutambula eza WhatsApp, eziraga nti Gloria Buggie yabadde mu laavu n’omusajja era kigambibwa ayinza okuba, y’omu kwabo abali ku ddimu ly’okutambuza obutambi bwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=g6vfs8Q9oX0