Omuvubuka omuli wa ssente w’omu Kampala Nduhukire Nasser amanyikiddwa nga Don Nasser, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 8, October, 2024.

Don Nasser myaka 38 nga mutuuze mu zzoni ya Kito mu disitulikiti y’e Wakiso, asimbiddwa mu kkooti n’omuyambi we Ateete Promise myaka 19.

Mu kkooti, aguddwako emisango egy’enjawulo omuli okwenyigira

–  Mu kukusa abaana

– N’okubasobyako

Okunoonyereza kulaga nti Don Nasser n’omuwala Ateete Promise wakati wa 23, May, 2024 ne 27, May, 2024, wakati wa Acacia Avenue, Tagore Apartments ku Muwanda Road mu Kampala ne Kito Zone mu Kira mu Monisipaali y’e Wakiso, benyigira mu kukusa omwana myaka 16.

Mu nnaku ezo, omwana yasobezebwako emirundi egiwera era mu kkooti ku Buganda Road, omulamuzi Ronald  Kayizzi yamusomedde emisango egyo.

Oludda oluwaabi, lugamba nti Don Nasser aludde ng’akozesa erinnya lye, okusendasenda abaana abato n’okusingira ddala abali mu ssomero, okubasobyako.

Omuwala avuddeko obuzibu,  yamugya ku Tagore apartments e Kamwokya, namutwala makaage mu zzooni ya Kito e Kira era mbu yamusobyako okumala ennaku 4 okuva nga 23 okutuusa nga 27, May, 2024.

Wadde yegaanye emisango, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze, lugamba nti lukyanoonyereza.

Ateete Promise abadde yakwatibwa dda wabula abadde yakkirizibwa okweyimirirwa olw’okunoonya Don Nasser wabula kati bonna basindikiddwa e Luzira.

Nasser bamukwatidde ku nsalo e Malaba gy’abadde yekwese okuva mu Gwokutaano, 2024, okumuzza kuno avunaanibwe.

Wabula munnamateeka wa Don Nasser, Friday Kagoro agamba nti omuntu we talina musango era agenda kukola kyonna okulaba nti avaayo mu kkomera.

Kagoro agamba nti n’omuwala ayogerwako nti yasobezebwako, Don Nasser tamumanyi.

Munnamateeka Friday Kagoro

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=n9AxIcVoz4o