Poliisi mu Kampala ekutte omuvubuka omubbi w’omu kw’abo, abaludde nga babba ‘Number Plate’ ku mmotoka ne basaba ssente.
Nga 17, September, 2024, Tazib Rajab nga mutuuze we Naguru mu Nakawa, yasanga emmotoka ye ng’ennamba UAM 203Y zitwaliddwa.
Ku mmotoka kwaliko akapapula nga kuliko ennamba y’essimu.
Rajab yakuba ku ssimu era eyakwata essimu, yamulagira okusindika ssente bw’aba ayagala okuddamu okufuna Number Plate y’emmotoka.
Amangu ddala, Rajab yatwala omusango ku Poliisi.
Poliisi mu kunoonyereza, ekutte Maara Gerald myaka 25, omutuuze we Banda B1 e Banda.
Mu kwekebejja amakaage, Poliisi esobodde okuzuula Number Plate ez’enjawulo, ekiraga nti abadde aludde ng’ababba Number Plate ku mmotoka ez’enjawulo.
Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ebisingawo naye kati omubbi ali mu mikono gyabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=FbWCUsjUOt8