Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM)  era Pulezidenti wa Uganda, Yoweri Kaguta Museveni agobye

1 – Dorothy Kisaka – Direkita wa KCCA

2 – Eng David Luyimbazi – Amyuka Direkita wa KCCA

3 – Dr. Daniel Okello – Abadde akulira eby’obulamu mu KCCA

Okusinzira ku kiwandiiko, Pulezidenti Museveni abagobye ng’asinzira kw’alipoota ya Kaliisoliiso wa Gavumenti ku nsonga za Kiteezi, Kasasiro okutta abantu.

Doroth Kisaka ne bba Peter Kisaka Kiyimba

Alipoota ya Kaliisoliiso wa Gavumenti yalaga nti waliwo obulagajjavu bw’abakulembeze abo, ekyavaako embeera y’e Kiteezi.

Olw’embeera eyo, Pulezidenti Museveni alagidde ekitongole ekinoonyereza ku misango ekya CID n’ebitongole ebirala byonna, mu bwangu ddala, okunoonyereza ku bantu abo ku misango gy’obulagajjavu.

Mu ngeri y’emu Pulezidenti alagidde akakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi, mu bwangu ddala okulanga ebifo ebyo, nga betaaga abakulembeze abalala mu bbanga lya myezi 3.

Pulezidenti alagidde Minisita wa Kampala, okumuwabula ku bantu bayinza okuteeka mu bifo ebyo, mu kaseera kano nga bakaseera, okugira nga batambuza emirimu wakati mu kulinda abakulembeze abagenda okulondebwa nga basabye emirimu.

Kinnajjukirwa nti wiiki ewedde, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, yategeeza nti abantu abavunaanyizibwa ku nsonga ze Kiteezi, bamanyiddwa era baweebwa Kaliisoliiso wa Gavumenti era yasigala yebuuza lwaki bakyali mu offiisi wabula kyaddaki Pulezidenti Museveni abagobye.

Kigambibwa baludde nga benyigira mu kubulankanya ensimbi ku nsonga z’akasasiro we Kiteezi era Lukwago agamba nti ayagala abantu batwalibwe mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ZGaeMhFqqd8