Poliisi e Kasangati ekutte omusirikale Constable Kadda Samuel (NO. 38126) ku misango gy’okusobya ku muwala we myaka 13.
Constable Kadda abadde asula ne muwala we mu balakisi ku Poliisi e Kasangati.
Omwana agamba nti kitaawe abadde amusobyako okumala ennaku eziwerako okutuusa bwe yakooye ng’alina okufuna obuyambi.
Omwana yasobodde okuddukira eri neyiba ng’asaba okutaasibwa era amangu ddala neyiba yasobodde okutwala omwana ku Poliisi okuyambibwa ku kitaawe.
Okusinzira ku ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti omusirikale waabwe Constable Kadda ali mu mikono gyabwe era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
ASP Owoyesigyire agamba nti tewali muntu bwe bayinza kuttira ku liiso ku misango gy’okusobya ku baana.
Omwana atwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa abakugu.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/@galaxyfmug1002/videos