Gavumenti evuddeyo okwongera okuyamba abatuuze b’omu Kiteezi oluvanyuma lw’akasasiro abuutikira abantu.
Okusinzira ku batuuze b’omu Kiteezi

  • Kasasiro yabuutikira amayumba ziri 48
  • Ennyumba ezamenyebwa Tulakita okutaasa abantu ziri 24
  • Amayumba agali mu kaseera akazibu okumpi n’e kasasiro ziri 28
  • Abapangisa abali mu nkambi bali 36
  • Mu ttenti ku Kiteezi Primary Schoool, mulimu famire 171
  • Poliisi n’abatuuze bakazuula emirambo 35 wabula famire z’abantu 6 tebannafuna ssente obukadde 5, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni zeyalagira okuwa abantu abaali bafiiriddwako abantu baabwe.
  • Abantu abaafuna ebisago bali 18 er buli omu yafuna dda ssente akakadde kamu (1,000,000) okufuna obujanjabi.
  • Bakyanoonya abantu 10.
    Ku Lwokubiri, abatuuze b’omu ttenti baavudde mu mbeera ne bategeeza Minisita wa Kampala Minsa Kabanda nti bakooye ttenti.
    Bagamba nti Gavumenti yandibadde evaayo ne bafuna ssente okuzaawo amayumba gaabwe naye bakooye embeera embi.
    Kati no, Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Parsis Namuganza avuddeyo ku nsonga z’abatuuze.
    Minisita Namuganza agamba nti Kabinenti yakkiriza okuwa KCCA obuwumbi 16, okuwaako buli famire mu ttenti e Kiteezi obukadde 2, bafune amayumba g’okupangisa, okwewala ebintu eby’enjawulo omuli n’endwadde.
Minisita omubeezi ow’ebyamayumba Parsis Namuganza

Mungeri y’emu agamba nti Kabinenti era yataddewo ssente obuwumbi 83 okusasula abatuuze b’omu Kiteezi, okuddamu okuzaawo amayumba gaabwe.

Ebigambo bya Minisita – https://www.youtube.com/watch?v=GTYMk3mXEfU