Omuwala wa Yunivasite ali myaka 23 akubiddwa empi era ataasiddwa abatuuze mu bitundu bye Ggaba, Makindye.
Kigambibwa omukyala maama Jane yafunye essimu nti bba akomyewo awaka ng’ali n’omuwala.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 10, maama Jane yatuuse awaka, nga bba taata Jane ali mu nnyumba n’omuwala.
Yakubye oluggi ng’asaba bba aggulewo wakati mu maziga nti bba nga bw’asukkiridde obwenzi.
Wakati w’eddakika 5 ku 10, omusajja yaguddewo oluggi era amangu ddala maama Jane yayambalidde omuwala.
Kigambibwa omuwala y’omu ku bayizi ku Yunivasite emu ku luguudo lwe Ggaba ng’asula ku Soya.
Yakubiddwa empi, ebikonde, okumusika enviiri wabula taata Jane ng’ali wamu n’abatuuze yasobodde okutaasa omuwala.
Omuwala yadduse mu ngeri y’okutaasa obulamu wabula maama Jane okutuuka mu nnyumba ng’omuwala wakati mu kutya yalemeddwa n’okwambala akapale k’omunda.
Oluvanyuma lwa Maama Jane okuzuula empale y’omuwala mu kisenge, yatabukidde bba era yamukubye oluyi mu lujjudde lw’abantu nga bakooye omusajja omwenzi kuba kati ayinza n’okumulwaza obulwadde.
Maama Jane yakoze byonna wakati mu batuuze okusakaanya nti abakyala bangi balemeddwa okufaayo ku basajja nti bakeera kunoonya ssente mu butale.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nGvEmuidhvc&t=78s